Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende ku kyalo Mpanga Naama, okumpi n’essomero lya Mumsa High school.
Emmotoka No. UBH369J Isuzu ebadde etisse omusenyu etomereganye bwenyi kubweenyi n’emmotoka No.UBK415N fuso ebadde eva e Mityana nga eyorekera Mubende.
Omwogezi wa police mu kitundu kya Wamala Recheal Kawala agambye nti akabenje kano kuvudde ku dereeva wa Fuso abadde ayisa tuleera mu kifo ekikamu, neyambalagana ne Isuzu.
Bonna abafudde babadde mu Isuzu era nga bava ku kyalo kimu.#