Abantu babiri bafiiridde mu kabenje ka mmotoka akagudde ku kyalo Nyamwamba mu district ye Kasese, mmotoka y’eggye lya UPDF Toyota Land Cruiser H4DF 2172 bwetomedde ennyumba.
Akabenje kano kaguddewo mmotoka eno bweetomedde omwana omuto abadde asala ekkubo, neremerera dereeva waayo neetomera ennyumba.
Abagenzi kuliko private Mawadri Fred okuva mu barracks ye Rukoki n’Omwana ow’emyaka 4 Bira Linius, era emirambo gyabwe gitwaliddwa mu ddwaliro lya Kasese Hospital okwekebejjebwa.
Ababaddewo nga akabenje kano kagwawo bategeezezza police y’ebidduka nti wadde omwana atomeddwa, omugoba wa mmotoka y’amagye naye abadde avugisa kimama.
Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima ategeezezza nti okunoonyereza ku kabenje kano kutandise , kyokka naasaba abagoba b’ebidduka okukomya obulagajjavu ku nguudo.
Bidakiddwa: Kato Denis