Emmotoka y’amagye No.H4DF2518 etomedde bodaboda No.UFL 767X ebaddeko abantu 4, omu afiiriddewo abalala 3 baddusiddwa mu ddwaliro e Masaka nga bali mu mbeera mbi.
Akabenje kano kagudde Lukaya ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Ddereeva w’emmotoka ya UPDF eno Kwebiha Isa akwatiddwa akuumirwa ku police e Lukaya wamu ne mmotoka ye saako ne pikipiki abatomeddwa kwebabadde basaabalira.
Ayogerera police mu bitundu by’e Masaka Twaha Kasirye agambye afudde ategerekese nga ye Ssentamu Willy wa myaka nga 23, ate abaddusiddwa mu ddwaliro kuliko ategerekeseeko erinnya limu erya Ali, Ivan Ddibya ne Paul Kakumba.
Kasirye agambye nti akabenje kavudde kukuvuga ndiima, eremesezza owa bodaboda okusiba, okukkakana ng’ayingiridde mmotoka.#
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru