Akabenje kagudde mu bitundu ebye Nakirebe Maya ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka loole ekika kya Sino truck ewabye neyingirira mmotoka eziwerekera Amyuka sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa, era abantu 6 balumiziddwa.
Abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya Double Cure e Kalagala Mpigi, era abasawo bategeezezza abamu bamenyese amagulu era nga getaaga kulongoosa.
Abakoseddwa ennyo kuliko Tumwesigye Gard ne Tiberinda Barnabas.
Abamu ku basirikale aboogeddeko ne CBS bategeezezza nti babadde bawerekera omumyuka wa sipiika nga bava Kampala boolekera Ibanda, emmotoka ya Sinotruck ebadde eva ku ludda lwe Masaka balabidde awo ng’ebayiingirira.
Emmotoka A Sinotruck zizze zemulugunyizibwako abantu bonna abakozesa enguudo okuli ab’emmotoka,pikipiki n’abatambuza ebigere, olw’abagoba baazo okuvugisa ekimama awatali kufa ku bantu balala.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick