Ebbujje lya myaka 2 lifiiridde mu kabenje ka mmotoka ne bazadde baalyo baddusiddwa mu ddwaliro e Namutumba mu Busoga nga bali mu mbeera mbi.
Omwogezi wa Police mu Busoga East SSP Nandawula Diana agambye nti akabenje kaguddewo mu kiro, nga byebaakazuula biraga nti mmotoka mwebabadde etomedde ente, olwo emmotoka neegwa neyefuula emirundi egiwezeeko, ekiddiridde kukwata muliro nesaanawo.
Omwana Kuunya Jimmy abadde ne bazadde be nga babadde batambulira mu mmotoka kika kya Toyota Wish NO. UBF 063 F nga baliko emikolo gyebabadde bava#