Omuliro ogutanaba ku kakasibwa kwe guvudde ,mukiro ekikeseza olwaleero nga 18 April,2024 gusaanyizaawo ebintu bya bukadde na bukadde mu katale aka Nile Open space mu Njeru municipality mu district ye Buikwe.
Omuliro guno ogutandise ku ssaawa nga kkumi ez’ekiro.
Abamu ku basuubuzi abakolera mu katale kano bagamba nti amawulire gano ag’entiisa bagafunye ku makya era nebagenda kipayoppayo okutaasa emaali yabwe nti naye bagenze okutuukayo ebintu byonna bifuuse muyonga.
Ssentebe w’akatale kano Moses Nsubuga Mukuye agambye nti ne wankubadde nga abangi bagamba nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku masanyalaze, naye waliwo n’okutebereza nti wandibaawo ababbi abaagadde okuwoolera olwamunabwe eyakwatiddwa ng’abba naakubwa nnyo olunaku olw’eggulo.
Agambye nti akayumba awatandikidde omuliro kko kabadde tekalina masanyalaze.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis