Emizannyo gy’amasomero egya ISF world School Games egiyindira e France nga gyetabiddwamu amawanga agenjawulo gitongozeddwa leero, Uganda yaweerezza abazannyi 42.
Ttiimu ya Uganda egenda kuvuganya mu mizannyo 5, okuli emisinde, okuwuga, ensero, badminton ne Table Tennis.
Omuzannyo gw’emisinde gwe gwasinze okutwala ttiimu y’abazannyi abangi bali 16,abawala 8 n’abalenzi 8.
Omuzannyo gw’okuwuga gulina ttiimu y’abawuzi 8.
omuzannyo gwa Table Tennis gulina ttiimu y’abazannyi 6 ne Badminton abazannyi 4.
Ttiimu y’ensero eriko abazannyi 8.
Ekibinja kya Uganda kyakulembeddwamu omumyuka wa president wa FUFA Justus Mugisha.
Amawanga 70 gegagenda okuvuganya mu mpaka zino okuli Uganda, Brazil, Tanzania, Croatia, Kosovo, Serbia, Hungary, Mauritius, Ukraine n’endala.
Empaka za ISF world school games zitandise leero zikomekkerezebwa nga 24 may,2022.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe