Akulira abalamuzi ba kkooti z’eddaala erisooka e Wakiso omulamuzi Kaggwa John Francis awabudde bannauganda okweyambisa ennyo kooti z’ebyalo okutaawulula enkayana z’ettaka, olw’obuvunaanyizibwa bwezirina obutereevu ku nsonga ezikwata ku bantu mu bitundu ebyenjawulo.
Omulamuzi Kaggwa abadde mu muluka gwe Bukondo mu ggombolola ye Namayumba, nga eno akakiiko k’eddembe ly’obuntu gyekasimbye amakanda okusomesa abaayo kunsoga z’amateeka wamu neddembe ly’obuntu.

Asabye bannauganda okuwa ekitiibwa kkooti z’ebyalo nti kubanga bassentebe bebyalo bebasinga okumanya obulungi ensonga z’ebitundu byabwe nga bawuliziganya n’abatuuze.
Abatuuze mu muluka guno ogw’e Bukondo Nga bakulembedwamu ssentebe weggombolola eno Muzenze Joseph basoose kukaabirira mulamuzi wamu n’abakakiiko k’eddembe ly’obuntu okubataasa kubanannyini ttaka ababakaabya akayirigombe awatali ayamba.
Abantu balaze okunyolwa nti olw’abamu ku bassentebe okwekobaana n’abanyazi b’ettaka ekyabaviirako okuba ng’abantu tebakyesiga nnyo kooti za byalo.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye naye asabye abantu obutamala gagula ttaka nebatalikozesa, kyagamba nti kino kiwa abanyazi bettaka omukisa okufuna webatandikira okuliwamba nga mpaawo abakuba kumukono .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo