Government etadde obuwumbi 280 mu mbalirira y’omwaka gwebyensimbi ogujja 2022/2023 okwongeza emisaala gy’abasawo abemitendera egyenjawulo.
Minister w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng abadde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebyobulamu, naayanjula embalirira ya ministry eno ekyali mu bubage.
Agambye nti nga besigama ku kiragiro kya president Museven, Doctor asookerwako okuba nti afuna obukadde 5 buli mwezi kyalowoozeddwako era kigenda kussibwa mu nkola.
Minister Aceng agambye nti wakyaliwo enteeseganya ezigenda mu maaso wakati wa ministry yebyobulamu, ministry y’ebyensimbi ne ministry y’abakozi ba government, okutematema ensimbi zino, eri abasawo abalina okwongezebwa emisaala ne sente ezirina okubongezebwa.
Omusinziira ku mbalirira ya ministry y’ebyobulamu eyanjuddwa, kati evudde ku trillion 2 n’obuwumbi 700, okutuuka ku trillion 3 nekitundu oluvannyuma lw’okwongerako ez’emisaala gy’abasawo.
Omutemwa gwemisaala mu ministry yebyobulamu gwejja okusasula mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2022/2023 gujja kuba gwa trillion nnamba.
Ebyo nga bikyaali awo, ministry yebyobulamu eyagala obuwumbi 652 ezokwetegekera ekirwadde kya covid19 ejjengo eryokuna.
Minister Jane Ruth Aceng agambye nti ensimbi zino zakugula eddagala erigema ekirwadde kya Covid19, okugema abantu wakiri million 22 , okugula ebikozesebwa mu kugema, nebirala.
Minister Aceng agambye nti werutuukidde olwaleero nga tebalinaayo mulwadde yenna ali muddwaliro olwa Covid19.
Kinnajjukirwa nti omwaka gwebyensimbi guno ogugenda mu maaso, obuwumbi obusoba mu 500 bwebwateekebwa mu mbalirira eno 2022/2023 okugula eddagala lya covid19.
Ebbanga eriyise eddagala ly’okugema covid 19,Uganda ebadde erifuna kuva mu bagabi ba buyambi okuli Bungereza, America n’amalala.