President w’e kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu avumiridde obubbi n’obulyake obuli mu Government bw’agambye nti bwebusibye obwavu mu banna Uganda.
Kyagulanyi abadde Busia ku kisaawe ky’essomero lya Madibira primary school.
Agambye nti Busia balina eky’obugagga kya Zzaabu, ennyanja n’ensalo ebibawa enkizo okubeera abagagga.
Abatuuze be Busia bamuloopedde nti wadde balina ensalo eyingiza ebyamaguzi okuva e Kenya, nti kyokka wofiisi ezikebera eby’amaguzi baazibaggyako nebazizza e Nakawa, ekyaviirako abantu bangi okufiirwa emirimu.
Kyagulanyi asisinkanye abantu be Busia,Iganga ne Bungiri abamwanirizza mu bungi yonna gyayise, saako okumulombojjera ebizibu byebayitamu omuli obwavu, ebintu okubeera ebyebbeeyi,ekibba ttaka n’ebirara. #