Emirambo ena gyejakazuulibwa ku bantu omukaaga abagambibwa okuba nti bebaagwa mu nnyanja Nalubaale ku sunday ewedde.
Abazuulidwa kuliko Kumutya Geofrey ,Maveya Godfrey’ Walwadi Fred ne Vincent Lumu.
Ekinaala kwebaali basaabalira kyali kikubyeko ebikozesebwa mu kuzimba, era nga kyali kiva ku mwalo e Kiyindi nga kyolekera ebizinga by’e Buvuma.
Kansala Kiggundu Amiri omu ku bali ku muyiggo gwabantu bano, ategezeza nti batandise okufuna essuubi nti emirambo gyonna boolekedde okugizuula.
Abantu omukaaga bebagambibwa okuba nti bebaali basaabalira ku kinaala ekyo, nti nga baali bagenda ku kizinga kye Namatale okubuulira enjiri,wabula nga nabo amannya gabwe tegaategerekeka.
Omuyiggo gw’okuzuula emirambo emirala ebiri gukyagenda mu maaso.