Emirambo 7gikyabuliddwako bannyinigyo, ku bantu 21 abaafiiridde mu kasasiro eyabumbulukuse e Kiteezi mu Kyadondo n’aziika amayumba.
Enjega eno yagwawo mu Saturday nga 10 August,2024.
Kiteezi kye kifo ewayiibwa kasasiro akungaanyizibwa mu kibuga Kampala okuva mu mwaka gwa 1996.
Kasasiro ono abadde yakola olusozi, yabumbulukuse n’aziika amayumba era nga mwakannyululwayo emirambo 21, nga n’okunoonya abalala abayinza okuba nga baaziikiddwa kasasiro kukyagenda mu maaso.
Emirambo egyakannnyululwayo kuliko abasajja 12, abakazi 5 n’abaana abato 4.
Omwogozi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma asinzidde mu lukungaana lwa banamawulire ku police e Nagguru nategeeza nti emirambo 14 baagikwasizza abenganda zabwe okugitwala okugiziika, oluvanyuma lwabasawo okumala okujjekebejja, sso nga 7 gikyali mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Kituuma asabye abantu abawangalira e Kiteezi abatalaba banganda zabwe okugenda eri police n’ebiboogerako, bakebere oba nga be bantu babwe abaafudde babatwale baziikibwe mu kitiibwa.