Emikolo egyokusabira n’okusiibula abadde sipiika wa parliament Jacob Lokori Oulanya, jisanyaladde okumala akabanga,kibuyaga bwatikuddewo weema,omuteereddwa ssanduuko erimu omubiri gw’omungezi.
Embeera eno ereeseewo akasattiro mu bakungubazi .
Abateesiteesi bayise bukubirire kwaya eyakulembeddemu okuyimba ku mikolo gino ejiyindira mu Omoro, nebatandika okuzina n’okuyimba ennyimba ezekinaansi n’okutendereza katonda, okutuusa embeera lwekakkanye.
Bino bibaddewo ng’okusabira omugenzi kwakakomekkerezebwa, kukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda eyawummula, Emeritus Luke Orombi era y’abadde omubuulizi omukulu, ng’ayambibwako abaweereza mu bulabirizi bw’omu bukiika kkono bwa Uganda.
Eyali ssabalabirizi Luke Orombi, mukubuulirakwe agambye nti ke kaseera abantu mu bendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda okufaayo n’okuwulira omukama kyagamba, kubanga ekitundu kyabwe kyakavaamu ba sipiika ba parliament 4, ne ba Ssaabalabirizi 4, naye nti wakyaliwo obutali bumu mu kitundu kyabwe.
Ssabalabirizi Kazimba Mugalu, ye mukwogerakwe asabye abatuuze mu bitundu bino okusigala nga bakakkamu era naawanjagira mukama okubagumya mu kusoomooza kwebayitamu mu kaseera kano, nga bafiriddwa empagi eyaamanyi,era nasabira n’abaana b’omugenzi okubagumya.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erye Gulu, Joh Baptist Odama, kulwa banna diini mu mukago ogutaba enzikiriza ezenjawulo ogwa Inter Religious Council of Uganda, agambye nti ekitundu kyabwe kyaguddemu ennyiike, nti kyokka kekaseera abantu bonna omwetunulamu ku bibasoomooza.
Nathan Lokori, taata wa Jacob Oulanyah, bwawereddwa omukisa okwogera, abakungubazi basoose kumukubira mizira, bwebasirise naasooka ayimbamu akayimba.
Ebigambo bya muzeeyi Nathan Lokori bibadde bivvuunulwa president wa DP, Nobert Mao okuva mu lucholi ng’abizza mu luzungu.
Agambye nti Jacob Oulanyah abadde akola kinene mu kuyimirizaawo amaka gabwe, n’abantu abalala bangi ddala batalinaako luganda.
Asabye government okubakwatizaako okumaliriza polojekiti zonna zabadde akola,okuli n’ennyumba y’omugenzi gyabadde azimba okumpi neya kitaawe ku kyalo Lalogi era waziikiddwa.
Muzeeyi Nathan Lokori ategezezza abakungubazi,nti mutabani we Jacob Oulanyah yamubuulirako nti yali yawebwa obutwa nti era bwebwamusse.
”Banange sikungubagira bwerere,naye mukimanye nti Jacob Oulanyah yawebwa butwa era yangamba. Yagenda okutwalibwa ebweru w’eggwanga nga yenna aweddeyo,era kyali kizibu okuwona”
Wabula minister w’eby’obulamu Dr.Jane Ruth Aceng yasomye alipoota eyakoleddwa abasawo okuva mu ddwaliro Oulanyah gyeyali atwaliddwa okujanjaba mu kibuga Seattle ekya United States of America eyalaze nti yafudde bulwadde bwa kkokoolo ekika kya lymphoma, era nga yeyaviiriddeko n’ebitundu eby’omubiri okugenda nga bisirika kimu ku kimu.