President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, azeemu okujjukiza bannauganda okwewala okutyoboola obutonde bwensi, naddala abeesenza mu ntobazi.
President Museveni asinzidde mu district ye Kyankwanzi ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala, naalabula nti guno gwemulundi ogusembyeyo okulabula abantu obuteseenza mu bitundu ebirimu okutyoobola obutonde bwensi.
President Museveni agambye nti ekyeeya nekibuguumirize eggwanga lyekirimu kisinze kuva ku batyoboola obutonde bwensi naddala okusaanyawo entobazi, ebibira nebirala.
Presidnet Museveni mungeri yeemu azeemu okujukiza banna Uganda okukola ennyo okuva mu bwavu nokwewala okukola nga balowooza ku lubuto lwokka neberabira ebivaamu ensimbi.
Omumyuuka woomukulembeze weggwanga, Rtd Maj Jessica Alupo, asinzidde ku mukolo guno nategeezanti government efubye okutereza nokulwanirira eddembe lyabakyala mu Uganda, nokubafaako ennyo nga bwekisanidde.
Minister omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’obuwangwa, Peace Mutuuzo, asabye president okwongera okuwagira ensonga z’abakyala n’abawala nga bweyakola okulagira abawala okwongerwako obubonero mu kusoma, ekibayambye okujjumbira emisomo.
Ssentebe Uganda National Women’s Council, Hajjati Farida Kibowa, asabye president okuzaawo obukadde 3, government bweyali esindikira district ezenjawulo okukozesebwa obukiiko bwabakyala mu kulondoola pulojekiti z’abakyala.
Hajjati Kibowa era awanjagidde abaami okukomya okutulugunya abakyala, naabakyala okusigala nga bawa abaami baabwe ekitiibwa.
Wabula ku mukolo guno, waliwo abakyala abeesowoddeyo nebaatulira president ku bufere obususse mu nsimbi ne pulojekiti za governemnti, omuli ensimbi eza PDM, eza Grow, nendala ekittattana ekifananyi kya government.
Ku mukolo guno waliwo abakyala abaweereddwa emidaala nga basiimibwa olw’obuweereza bwabwe obusukkulumye eri eggwanga okuli Omumyuka asooka owa Ssaabaminister era minister avunaanyizibwa ku mukago gwa East Africa, era nga yaliko sipiika wa parliament Rebecca Alitwala Kadaga.
Abakyali abali mu bitongere by’ebyokwerinda okuli amagye, police n’amakomera boolesezza obukodyo obwenjawulo omuli n’okuduumira parade.