Bannansi ba Kenya n’emikwano okuva ebweru wa Kenya bakuƞƞaanye mu bungi,okukungubagira eyali president wa Kenya ow’okusatu Emilio Stanley Mwai Kibaki.
Gino gy’emikolo gy’eggwanga emitongole egyokumukungubagira, gibadde mu kisaawe kya Nyayo National Stadium mu kibuga Nairobi.
Abantu ba bulijjjo baabakkiriza okwetaba ku mikolo gino, era ekisaawe kyonna ekituuza abantu emitwalo esatu kibadde kijjudde, wadde ng’enkuba yakedde kufudemba.
Lubadde lunaku lwakuwummula mu Kenya wonna okukungubagora Kibaki.
President Uhuru Kenyatta yaakulembeddemu abakungubazi.
Kenyatta ayogedde ku mugenzi Kibaki ng’omuzira w’eggwanga atalyerabirwa mu byafaayo, olw’amaanyi geyassaamu okulwanirira obwetwaze bw’eggwanga eryo buli omu mweyeeyagalira kati.
Kenyatta agambye nti Kibaki abadde mukulembeze alina emmunyeenyeso mu buweereza bwe na byonna byeyakolera eggwanga byalinga ku mulamwa.
Omumyuka wa president wa Kenya Dr.William Ruto ayogedde ku Kibaki ng’omusajja eyasima omusingi gw’ebyobufuzi ogwa democrasia, Kenya n’okutuusa kati kweyimiridde nga tenyeenyezebwa.
Ruto atenderezza Kibaki nti abadde mugezi mu nsonga z’eby’enfuna n’obukulembeze obwenyumirizibwamu buli munnansi n’abalala abali mu mawanga amalala.
Akulira oludda oluvuganya government ya Kenya Papa Laira Odinga ayogedde ku mugenzi Kibaki ng’omuntu omugezi atawunyikamu, eyakyawa omuze gw’obulyi bwenguzi era n’akola ekisoboka okugukendeeza mu ggwanga lye.
Jimmy Kibaki, ayogedde ku lw’abennyumba ya Kibaki, agambye nti kitaabwe abadde n’omukwano gw’omuzadde ogutagambika, mwoyo gwa ggwanga eyaweereza ensi ye n’omutima gwe gwonna.
Ba President b’amawanga amalala okuli Cyril Ramaphosa owa South Africa ne Sahle Work-Zewde owa Ethiopia nabo boogedde ku mugenzi, ng’omusajja abadde ayagala ennyo obwegassi bw’amawanga ga Africa.
President wa South Sudan Salva Kiir atenderezza nnyo omugenzi olw’amaanyi geyateekamu mu nteeseganya z’okuzza emirembe mu Sudan, omwava okwetongola kwa South Sudan.
Amawanga amalala aga East Africa nago gakiikiriddwa Uganda ekiikiriddwa omumyuka wa president Jesca Alupo, Rwanda ekiikiriddwa Ssaabaminister, Tanzania ekiikiriddwa mumyuka.
Zimbabwe, Malawi ne Srilanka nazo ziweerezza ababaka.
Kibaki yali president wa Kenya ow’okusatu, yadda mu bigere bya Daniel Arap Moi.
Kibaki yafuga Kenya okuva mu december wa 2002 okutuuka nga 9 April 2013.
Emilio Stanley Mwai Kibaki yava mu bulamu bwensi ku myaka 90 egy’obukulu.
Yazaalibwa nga 15 November 1931 mu kitundu kye Othaya Nyeri county.
Baazaalibwa abaana musanvu, Kibaki yeyali omuggalanda.
Kati wasigaddewo muganda we omu ayitibwa Waitherero.
Emilio Stanley Mwai Kibaki yafa nga 22 April,2022 wakuziikibwa olunaku lw’enkya 30 April, 2022 mu bitundu bye Othaya Nyeri county.