Abatuuze mu kibuga Lukaya mu district y’eKalungu bali mu kiyongobero amazzi gawaguzza okuva mu migga negaggwera mu maduuka n’amayumba g’abatuuze.
Amazzi gano gaawaguzza okuva mu migga egiriraanyeewo okuli Kaasokengo ne mu Kattabazungu neganjaala ekibuga kyonna era amaduuka agawerako gaabulidde mu mazzi gano.
Embeera eno okusinga ekosezza amaduuka agali ku lukadde saako agali mu maaso ga Uganda Cares era abasuubuzi abenjawulo balabiddwaako nga Bali mu maziga olw’emmaali yabwe eyonooneddwa.
Obwakabaka nga buyita mu amyuka omwami w’akabaka atwala eggombolola ya Mutuba II Bukulula etwala ne Lukaya Nsubuga Patrick busaasidde Banna-Lukaya olw’ekizibu ekibagwiiridde.
Nsubuga Patrick era asabye abateekerateekera ekibuga okufaayo ku mbeera y’ekibuga kino, n’agamba nti mu kukola oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, emikutu egitwala amazzi baateekamu mifunda ate nga nagyo kati gizibikidde olw’abantu abamansa kasasiro.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru