Bya Issah Kimbugwe
Olukiiko oluteekateeka emizannyo gya Commonwealth Games egy’omwaka guno 2022, lutongoza era ne lukakasa emidaali 1,875 egigenda okuwebwa abawanguzi b’emizannyo egyenjawulo.
Emizannyo gya Commonwealth Games gyakubeerawo okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August 2022, mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.
Mulimu emizannyo egyenjawulo ng’okubaka,rugby,okuwuga, ebikonde n’emirala mingi.
Amawanga 72 gegasuubirwa okuzetabamu, n’abazannyi 5,054.
Emidaali egitongozedwa gimaze ebbanga lya mwaka mulamba n’emyezi esatu nga giwundibwa nga bwegirana okufanana.
Emidaali gino giweza millimeters 63 mu bugazi, ne millimeters 74.3 mu buwanvu.
Emidaali egya zaabu ne feeza gizitowa grams 150.
Emidaali egy’ekikomo gizitowa grams 130.
Empaka zino zaatandika okuzannyibwa mu 1930.
Okuva olwo emidaali 10,249 gye gyakagabwa. Ku midaali gino kuliko 3,323 egya zaabu, 3,316 gya feeza ate egy’ekikomo giri 3,610.
Uganda mu mpaka zino yakawangula emidaali 55, kuliko egya zaabu 16, feeza 16 n’egyekikomo 23.
Empaka Common wealthgames gyetabwamu amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza.