Police e Masaka ekutte omusajja ateeberezebwa okutta Matovu Bashir 22, abadde omutuuze ku kyalo Kanyogoga mu division ya Kimanya -Kabonera Masaka City.
Akwatiddwa ategerekeseeko lya Miiro omutuuze ku kyalo kye kimu, oluvannyuma lw’embwa ya Police ekonga olusu eyitibwa Gringo, okubatuusa ku kazigo ka Miiro mwasula.
Omulambo gwa Matovu Bashir gwasangiddwa nga gutemeddwatemeddwa negusuulibwa mu nnimiro ya Kasooli.#