Ssentebe w’akakiiko ka parliament akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo Mohammed Muwanga Kivumbi asindiise ba mbega ba police abatuula ku kakiiko Kano, bagende mu ministry yebyobulimi n’obulunzi bagyeyo ebiwandiiko byonna ebikwaata ku nsaasaanya y’ensimbi obuwumbi 15 ezaagula embuzi nezigabibwa eri abantu wabula nezibafaako.
Ssabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga yazuula nti wadde embuzi zino zaagulibwa buwanana ate nnyingi zaafa.
Akakiiiko ka parliament kakedde kasisinkana abakulu mu ministry y’ebyobulimi okunyonyola ku by’ebyensimbi zino, wabula abakulu bano ababadde bakulembeddwaamu omuteesiteesi omukulu mu ministry eno Maj Gen David Kasura Kyomukama balemeddwa okunyonyola ku bikwaata ku mbuzi zino.
Akakiiko kano kakitegeddeko nti ministry y’ebyobulunzi eriko embuzi ez’olulyo endala 71 zeyagula okuva e south Africa ku bukadde bwensimbi 528 nga buli mbuzi yagulibwa ku nsimbi 7,400,000.
Steven Kasura eyali omusaale mu project eno, bwabuuziddwa okunyonyola ku bikwata ku mbuzi zino ezaagulibwa obuwanana ebigambo abadde tabinyonyola kimala, ekiwaliriza akakiiko Kano okumukwaasa bambega ba police ,bamutwaale akole statement.
Mohammed Muwanga Kivumbi alagidde bambega bano, nti bwebamaliriza okufuna statement eyo, bagende ku ministry yebyobulimi bagyeyo ebiwandikko byonna ebikwata ku nsaasaanya y’ensimbi zino ezaagula embuzi.#