Kkaminsona w’ebyenjigiriza ow’amasomero g’obwannyini mu ministry y’ebyenjigiriza, Milly Mutende atenderezza omulimu ogukolebwa ab’essomero lya Good Times Infant School e Kawaala mu Lubaga, ogw’okusiga mu baana empisa ey’okukuuma obutonde bw’ensi.
Obubaka abutisse Principal Education Officer Private Schools mu ministry y’ebyenjigiriza Harriet Ssenkaali, mu kuggalawo ekivvulu ky’empaka z’ennyimba, Amazina ne Katemba ku ssomero e Kawaala, ekitambulidde ku Mulamwa ogugamba nti Embeera y’obudde ennungi buvunaanyizibwa bwa buli muntu.
Agambye nti kirungi nnyo abaana okussibwamu empisa y’okukuuma obutonde bwensi olwo bakule nga bategedde bulungi omugaso gwabwo.
Akuutidde abazadde nabo okwegatta ku masomero batwale mu maaso omulamwa gw’okukuuma obutonde bw’ensi n’ebyo abaana byebayize ku masomero babikuze nga babalambika.
Mu ngeri yeemu, asabye abazadde okulambika abaana baabwe ku byebateekwa okulaba ku TV ne ku mikutu emigatta bantu, kubanga mingi gissibwako eby’esittaza abaana byebatateekeddwa kulaba nebiboonoona obwonga n’okuseeguka.
Omwami w’essaza Kyaddondo Kaggo Ssaalongo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu, mu bubaka bwatisse akulira ekitongole ky’ebyenjigiriza mu Kyaddondo Asadu Kirabira yeebazizza omumyuka we asooka era omutandisi w’essomero lino Omwami Bakulumpagi Ronald olw’okukyusa omutindo gw’ebyenjigiriza mu kitundu n’okutambulira ku miramwa nga Ssaabasajja bwalagira naddala ogukwata ku buttonde bw’ensi ne Bulungi bwansi.
Omukulu w’essomero lino Omwami Ronald Bakulumpagi agambye nti baluubirira okuzuula n’okutumbula ebitone eby’enjawulo mu bayizi bibayambe okutambuza obulamu gyebujja nga bagatta ku by’enjigiriza byebafunye.
Mu kivvulu kino essomero lino Good Times Infants School Kawaala kwerijagulizza n’okuweza emyaka 32 mu nsiike y’ebyenjigiriza nga lisomesa n’okugunjula abaana ba Uganda.
Okuvuganya kubaddemu emitendera esatu okuli Nursery, Lower Primary ne Upper Primary.
Gyebiggweredde nga mu Nursery, Middle West y’ewangudde, mu Lower Primary P.2 yeewangudde olwo mu Upper Primary P.6 nemegga.
Abawanguzi buli omu afunye ekikopo ne Sseddume w’ente ezijjiddwa mu ffaamu y’essomero.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo