Olwa leero ennaku z’omwezi ziri 01 May,2023 lunaku lwa kwefumiitiriza ku nsonga ezikwata ku bakozi munsi yonna.
Emikolo emikulu mu Uganda gitegekeddwa mu district ye Namutumba, president w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven yasuubirwa okubeera omugenyi omukulu.
Okukuza olunaku luno mu Uganda kwesigamiziddwa ku mulamwa ogugamba nti: “Okuzaawo ebyakosebwa ekirwadde kya COVID-19; okuwagira banna Uganda okuba abakozi abembavu nga tuyita mu nkola ya Parish Development Model”
Mu kwefumiitiriza ku lunaku luno, bannakyewa abalafuubanira eddembe ly’abakozi balabudde government ya Uganda okukomya okuyisa amaaso mu makozi, era nebasaba amateeka mwebakolera ganywezebwe, kiyambeko mu nkulaakulana y’abantu n’eggwanga lyonna.
Okunoonyereza kulaze nti Uganda mu nsi yonna ekwata kifo kyakumwanjo mu kutyoboola eddembe ly’abakozi, omuli obutabaawo musaala ogw’essalira era ogwegasa ogusookerwako, abakozi ebitundu 67% bakola emirimu egiriko endagaano z’ebigambo obugambo, songa ebitundu 33% bebokka abalina endagaano mu buwandiike.
Okunoonyereza okukoleddwa bannakyewa omuli FIDA Uganda, SEATINI Uganda, voices for Labour ne NOTU ekitwala abakozi mu ggwanga, kulaze nti abakyala n’abawala abavubuse bakwata kifo kisooka mu bakozi abasinze okutyoboolebwako eddembe lyabwe.
Ebimu ku bifo omusinze okutyoboolebwamu eddembe ly’abakozi mulimu amasamba g’ebimuli, amakolero, amatendekero n’ebifo ebirala bingi, kyokka ng’abakozi bano tebalina nsako eteekebwa mu kittavvu kya government ekya NSSF.
Alipoota y’ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku bakozi ki International labour Organization eraga nti abakozi 5500 bebafa buli lunaku olw’ebizibu ebyetoloolera ku mirimu, omuli abagwa ku bubenje ku mirimu, abalwalira ku mirimu n’ebirala bingi.
Alipoota yeemu eraga nti munsi yonna abakozi obukadde 2.34 bebafa buli mwaka olw’obuvune bwebafunira ku mirimu, ssonga obukadde 2.2 bebafa olw’endwadde ezibakwatira ku mirimu , n’ebiragalala ebibayingira mu mibiri.
Akulira ekitongole ekitwala abakozi mu ggwanga ki NOTU Usher Wilson Owere alabudde government ku ddembe eriyitiridde lyeyawa bamusigansimbi abatulugunya bannansi mu makolero gabwe.
Owere mungeri yeemu asabye abakozi mu ggwanga lyonna okuyingira ekibiina ekitaba abakozi olwo bafune eddoboozi ery’awamu, mungeri yeemu naanenya abakozesa abalwisaayo emisaala gy’abakozi.
Akulira enzirukanya y’emirimu n’ebyempuliziganya mu kitongole ki SEATINI Uganda Herbert Kafeero asabye government eyongere ku muwendo gw’abalamuzi mu kooti ezivunaana bannamakolero, ne kkooti z’ebyenfuna, nti kubanga mingi ku misango egiwabwa mu kooti gikandaalirira olw’ebbula ly’abalamuzi n’ensonga endala.
Bisakiddwa: Kato Denis