Abamu ku babaka ku ludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu abakulira Mathias Mpuuga Nsamba balambudde ku babaka Allan Ssewannyana ne Muhammad Ssegiriinya mu kkomera e Kigo.
Bategeezezza nti bombi basangiddwa ng’embeera yaabwe tesanyusa n’akatono.
Owek Mpuuga agambye nti ababaka, beetaaga okuyambibwa okwamangu bafune obujjanjabi.
Mpuuga agambye nti bagejjeredde wamu n’okwengerera mu mbeera buli omu gyalabira ddala nti siyabulamu.
Agambye nti abasibe bamutegeezezza nti abasawo b’ekkomera bagezezzaako okubayamba naye beetaaga obukugu obusingako ku buli mu kkomera.
Mpuuga asuubizza okukwatagana ne bannamateeka b’ababaka bano n’abantu abalala okukakasa ng’ababaka bano bayimbulwa bafune obujjanjabi bawozesebwe nga bava bweru.
Mpuuga abadde ne Hon Hillary Kiyaga, Hon Joyce Baagala ne Hon Charles Matovu.