Ministry yebyensimbi erangiridde nti mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2023/2024, government tegenda kugulira bakulembeze ku mitendera egyenjawulo emmotoka empya , ensimbi tewali.
Minister Kasaija agambye nti emmotoka ezigenda okugulibwa zokka zezikwata ku by’obulamu nga ambulance,nez’ebyokwerinda.
Minister Kasaija badde asomera eggwanga embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/20204, mu lutuula lwa parliament olutudde e Kololo.
Agambye nti nentambula zabakulu mu government okugenda ebweru w’eggwanga kusaliddwako,abagenda okukkirizibwa okugenda ebweru w’eggwanga batono okuli abakulira amassiga asatu aga government naabo abagenda ebweeru okunoonyeza Uganda ensimbi.
Obubaga ne workshops nazo minister Kasaija alangiridde nti bisaliddwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja 2023/2024.
Okuwandiika abakozi abaggya mu bitongole bya government byonna, minister Matia Kasaija alangiridde nti kuggya kukolebwa ng’okubala abakozi ba government okugenda mu maaso kukomekerezeddwa, governemnt bwenaana etegedde ewali emiwaatwa egyetaaga abakozi abalala
Embalirira essomeddwa ya trillion 52 nobuwumbi 740, eno nga yeyongeddemu trillion 4 okuva ku trillon 48 n’obuwumbi 130 ez’omwaka gwebyensimbi guno ogugenda okugwako 2022/2023.
Essiga eddamuzi, parliament ,ebyokwerinda n’obutebenkevu, saako obukulembeze bifunye omugabo gwa trillion 9 n’obuwumbi 100 okuva ku trillion 8 n’obuwumbi 100 ez’omwaka gw’ebyensimbi guno ogugenda okugwako 2022/2023
Ebyobulamu, ekikula ky’abantu ,ebyenjigiriza bifunye trillion 9 nekitundu, ebyentambula bifunye trillion 4 nekitundu ,ebyobulimi n’okugatta omutindo ku birime bifunye trillion 1 nobuwumbi 700, ebyamasanyalaze n’obugagga obwensibo trillion 1 nobuwumbi 400, songa okukulakulanya amakolero amatonotono nebaneekolera gyange bifunye trillion 1 nobuwumbi 800.
Okuwanirira embalirira eno, government egamba nti yakukungaanya trillion 29 n’obuwumbi 670, nga zino ziri waggulu ku trillion 25 government zeyateekateeka okukungaamya mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2022/2023.
Gavument era esuubira okufunayo obuyambi bwa trillion 2 n’obuwumbi 700 okuva mu bagabirizi b’obuyambi, songa obuwumbi 287 gwe musolo government ez’ebitundu gwezisuubira okukungaanya.
Government era eteeseteese okwewola ensimbi trillion 20 okuva munda mu ggwanga n’ebweru w’eggwanga, okwongera kwezo zegenda okukungaanya okuva mu musolo ,okusobola okuwanirira embalirira eno, eya trillion 52 n’obuwumbi 740.
Ku ludda lwensaasanya, government esuubira okukozesa trillion 5 n’obuwumbi 160, ezisigalawo trillion 27 n’obuwumbi 580 zigenda kukozesebwa okusasula amabanja Uganda gezze yeewola emyaka egiyise ,okuli agawano munda mu ggwanga n’ebweru wa Uganda.
Matia Kasaija minister w’ebyensimbi agambye nti omwaka gw’ebyensimbi ogujja government eriko enkyukakyuka zereeta mu nkungaanya y’omusolo nekigendererwa ekyokwongeza ku musolo ogukungaanyizibwa mu ggwanga.
Minister Kasaija agambye nti December w’imwaka 2022 weyagwerako , Uganda yali ebanjibwa amabanja ga trillion 80 zagambye nti government egenda kukola ekisoboka okukendeeza ku mabanja gano, okukendeeza kukwewoola n’okulaba nti ensimbi ezewolebwa ziteekebwa ku bintu ebizza amagoba eri eggwanga, songa neezo ezewolebwa okuzirondoola ennyo nti zikozesebwa bulungi
Minister Kasaija abuulidde eggwanga nti embalirira eno ey’omwaka ogwebuensimbi 2023/2024,ya muntu wawansi mufuna mpola era ebiteereddwako essira bigenda kuyamba bannansi okusitula ennyingiza yabwe nebyenfuna,okuva mu bwavu.
Minister Kasaija agambye nti embalirira eno, ekwata ku buli munnansi okuli abavubuka ,abakadde, abasuubuzi,bannamakolero amanene namatono era egenda kuyambako bannansi okwongera omutindo ku byebakola, okukulakulanya business zabwe.#