Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Ggabula Nadiope IV ne Inebantu Jovia Mutesi bagattiddwa mu bufumbo obutukuvu mu lutikko ya Christ Cathedral Bugembe Jinja Busoga.
Ssaabalabirizi wa Uganda Dr.Stephen Kazimba Mugalu y’abagasse, nebakuba ebirayiro eby’okubeera obulamu bwabwe bwonna.
Nnabagereka Sylivia Naginda y’ajulidde abagole, ng’ateeka omukono ku bbaluwa y’obugole ebaweereddwa ekanisa.
Kyabazinga yazaalibwa nga 01 November,1988.
Kitaawe ye Wilson Gabula Nadiope II, eyaliko minister w’ebyobulambuzi mu government eya wakati, yafa mu 1991, ate nnyina Josephine Nadiope yafa mu 1993.
Lutikko eno kwetudde ettaka lyawebwayo omugenzi Kyabazinga Henry Wako Muloki.
Yatandika okuzimbibwa mu 1969 n’ekomekkerezebwa mu 1972.
Mu kiseera ekyo Kyabazinga Waako yali yawasa dda Ihnebantu Alice Kintu nga 21 January, 1956, bwatyo Kyabazinga Gabula Nadiope ye kyabazinga asoose omugattibwamu.
Budhumbula yewali ekitebe ky’essaza Bugabula ewali olubiri lwa Kyabazinga Gabula Nadiope era eno gyasimbudde okwolekera Christ Cathedral Bugembe gy’agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Jovia Mutesi avudde mu maka ga bakadde be e Mayuge.
omukolo gwetabyeko abe’ebitiibwa bangi ddala ng’Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Nnaabagereka Sylivia Naginda, ne sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwaga Mugumbule.
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Jesca Alupo y’akiikiridde president Yoweri Kaguta Museven.
Yogaayoga Ise iffe, Ekisegeese ekitaliibwa Nsolo, Ghangaala Baaba!