Omuzannyi wa ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes, omuzibizi Elvis Bwomono, azizza buggya endagaano ye ne club ya St Mirren egucangira mu liigi ya babinywera e Scotland.
Elvis Bwomono yegatta ku club ya St Mirren mu December wómwaka oguwedde 2023 ku ndagaano enyimpi ddala okutuuka kunkomerero ya season eno.
Wabula olwómutindo gwayolesezza, abakulu ku club ya St Mirren basazewo okwongezayo endagano eno okutuuka mu 2025.
Bwomono abadde yakazannya emipiira 14 mu mujoozi gwa St Mirren okuli egya liigi 12 némipiira egya FA Cup.
Omuzannyi ono yava mu Uganda nga mwana muto ddala ku myaka 3, era azannyideko e Bungereza mu club ya Southend wakati wa 2017 ne 2021, gyeyava okugenda mu IBV eya Iceland.
Elvis Bwomono yatandika okuzanyira Uganda Cranes mu 2020.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe