Abantu 5 bebasuunsuddwa akakiiko kebyokulonda mu district ye Serere, okuvuganya mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka akiikirira ekitundu kya Serere mu parliament.
Ekifo kino kibadde kyasigala kikalu oluvannyuma lw’omubaka eyakirimu Patrick Okaba okufiira mu kabenje k’emmotoka ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Abasunsuddwa kuliko Onguruco Martin atalina kibiina ,Oucor Philip owa Nrm , Eratu Emmanuel owa FDC, Omoding Emmanuel atalina kibiina nga Ono mutabani w’omugenzi Patrick Okabe ne Alice Alaso wa ANT.
Okusunsula kukomekkerezeddwa, ate kakuyege atandika nga 13 okutuuka nga 21 february, olwo
okulonda kubeewo nga 23 February, 2023 mu bifo ebironderwamu 138.#