Government etandise enteekateeka z’okuwaayo ettaka okutudde ekkomera lya Uganda ekkulu erye Luzira, limenyebwewo wazimbibwewo woteeri bwaguuga eri ku mutendera gwa 5 star Hotel.
Luzira prison yaziimbibwa ku lubalama lw’ennyanja Nalubaale mu gombolola ye Makindye mu kibuga Kampala.
Mu bbaluwa eyawandiikibwa omukulembeze w’eggwanga mu July wa 2022 eri minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafiire, yamulagira asisinkanne musiga nsimbi owa Tian Tang Group ,eyaleeta ekirowoozo ky’okuzimba woteeri ennene ku ttaka okutudde ekkomera lye Luzira.
Museveni mu bbaluwa eyo yategeeza minister Otafiire nti musiga Nsimbi oyo owa Tian Tang Group yasuubiza nti singa governmrnt emuwa ettaka okutudde ekkomera lye Luzira, wakuzimba ekkomera eddala ku ttaka government lyenaaba emuwadde ku nsimbi ezize.
Museveni mu bbaluwa eno yategeeza nti ekirowoozo yali akiwagira, era naalagira minister Otafiire okusisinkana musiga nsimbi government etandiike enteeseganya.
Yalagira Ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga era enoonye ettaka government kweyinza okusengulira ekkomera lye Luzira, musiga nsimbi ezimbewo woteeri.
Mu kiseera kino minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafiire awandiikidde Ssaabawolereza wa government ng’amuyita mu nsisinkano enaabaawo nga 06 March,2024 okwogera ku nsonga eno.
Minister Otafiire mu bbaluwa eno, ategeezeza ssabawolereza wa government nti ministry ye, yafunye ettaka mu bitundu bye Buikwe wabula likyaaliko emigozoobano egyetaaga okugonjoolwa, okuyita mu kuwabula kwa Ssaabawolereza wa government.
Ettaka eryogerwako, minister Otafire agambye nti lya Family Yomugezi Antonio Texas Lutwama Kaboggoza.#