Government ng’eyita mu kitongole kya NAADS edduukiridde ekkanisa ya Uganda, n’ente zi nnusu bulaaya endala 20, okwongera okukwasizaako ekkanisa mu nkulakulana.
Ente zino zikwasiddwa ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu.
Ente 20 zakuweebwa abakulisitaayo mu bulabirizi bwa Busoga okwongereza kwezo 20 ezaasooka okubaweebwa, kati ziweze 40 e Busoga.
Omugatte ente zonna ziri 119 ezaakawebwa mu bulabirizi 5, kwezo e 159 ezaasubizibwa okuwebwa ekkanisa.
Ente 39 zaagenze mu Kitgum diocese, 20 zagenda mu Central Buganda n’endala 20 mu West Lango, ssonga waliwo n’embizzi 200 ezibaweereddwa.
Bwabadde akwasa ekkanisa ente zino, Dr. Samuel Mugasi, ssenkulu wa NAADS, agambye nti NAADs yakwongera ekkanisa enkoko za Croilers 10,000, ensigo z’amapaapali 100,000, entangawuzi, emmwanyi nendala, ziyambeko ekkanisa okukwasizaako government mu kulwanyisa obwavu nokutumbula enkulakulana mu kanisa.
Nga 24th March 2022, ekkanisa ya Uganda yatta omukago n’ekitongole kya NAADs, okwongera okuwagira ebyobulimi mu Uganda, naddala ebivaamu ensimbi nokukyusa endowooza y’abantu ku by’obulimi.
Ekanisa yaakuwebwanga obuwumbi bwa shs 2 buli mwaka okuva mu government mu nteekateeka eno.