Ebizimbe okugenda okubeera Kkooti ensukkulumu nejulirwamu ebibadde biteekeddwa okumalirizibwa mu June omwaka guno 2022, bijulidde kumalirizibwa mu November omwaka guno.
Eddimu ly’okuzimba kkooti zino lyagyibwako engalo ku nkomerero ya 2019 , wabula kwatataganyizibwa ekirwadde ki Covid 19.
Ebizimbe bino bisangibwa ku kkooti enkulu mu Kampala.
Bigenda kubaako emyaliriro 7 buli kimu. Kuliko office z’abalamuzi eziyitibwa Chambers, kkooti ez’olukale, gym abalamuzi nabakozi mu ssiga eddamuzi gyebanakoleranga Dduyiro ne woteeri.
Ebizimbe bino byakuwemmenta obuwumbi bwa shilling obukunukkiriza mu 64.
Birina parking ya mmotoka 226.
Permanent Secretary mu ssiga eddamuzi Pius Bigirimaana alambudde ebizimbe bino, n’agamba nti singa binaaba biwedde, byakutaasa ensimbi obuwumbi bwa shilling 6 buli mwaka, ezibadde zisasanyizibwa ekitongole ekiramuzi kukupangisa ebizimbe kkooti ensukkulumu n’ejulirwamu wezikolera emirimu mu kiseera kino.