Ekitongole ky’amakomera kitangaazizza ku katambi akasasanidde emikutu gimugatta bantu nga kalaga nga bwewaabaddewo abantu abalumbye bus y’amakomera ne balwanagana n’abasirikale olw’ebigambibwa nti waabaddewo munabwe eyabadde akwatiddwa.
Embeera eno yabadde ku kyalo Bunyolwa e Ziroobwe mu district ye Luweero.
Omwogezi w’amakomera Frank Baine Mayanja asinzidde mu lukungana lwabanamawulire ku police e Nagguru nategeeza nti bus teyabaddemu musibe yenna, wabula waabaddewo omuvubuka eyanyakudde essimu yomu kubasirikale eyabadde agenze okwetaba mukuziika ow’oluganda lwe mu bitundu ebyo.
Baine abagamba nti omusirikale wabwe yabadde atambulidde mu bus ya makomera eyomubitundu bye Mpigi, era nga bakolera wamu nabatuuze nabakuuma ddembe abalala baasobodde okuzuula essimu ku muvubuka agambibwa okugibba era ensonga nezigonjoolwa bulungi era omurikale w’amakomera neyeyongerayo.#