Wabaddewo akasatiro ku kisaawe e Kakuuto mu district ye Kyotera, bagudde ku kintu ekyefananyirizaako bbomu zzisa byalo.
Ekintu kino kizuuliddwa abavubuka ababadde basima ebinnya ku kisaawe ekyo okusibako ekikomera ewabadde wagenda okutegekebwa endongo, naakisikayo mu ttaka.
Omusirikale abaddewo okumpi ayise mangu police, nayo etemezza ku magye agavudde mu nkambi e Kasijjagirwa negakitwala.
Kiteeberezebwa nti bbomu eno yeemu ku bbomu eziyinza okuba nga zaasuulibwayo mu 1978 ne 1979, abakomboozi abaava e Tanzania bwebaali batwala government ya Idi Amin Dada entyagi.
Ayogerera police mu kitundu ekyo Twaha Kasirye agambye nti abantu balina okwerinda n’okutemya ku police amangu nga balabye ebintu ng’ebyo ebitali byabulijjo.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi