Ekisulo ky’e ssomerolya Creamland day and boarding primary school e Nabidonga mu Iganga municipality kikutte omuliro ebintu by’abayizi bisaanyeewo.
Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde, gwakuttr kiro ng’abayizi bagenze kulya kyaggulo, era tewali muyizi atuusiddwako bisago.
Akulira essomero lino Baker Ssali Ediluma agamba nti wandibeerayo ab’emitima emibi abagezaako okumufiiriza, nti kubanga essomero lye lye limu kugasinga okukola obulungi ebigezo mu Busoga.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga East SSP Nandaula Diana agambye nti bakyayongera okunoonyereza ekivudde omuliro, era nga tebalina kyebafunyeewo ku kivuddeko omuliro.