Government esazeewo okunaanula ekisanja kya bassentebe b’ebyalo okumala ebbanga lya myezi 6 nga bweyeteekateeka okufuna ensimbi ez’okutegeka okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo.
Ekisanja kya ba ssentebe b’ebyalo eky’emyaka 5 kyagwako nga 10 July,2023.
Ba minister babadde mu lutuula lwabwe nebasalawo nti ekisanja kya ba Ssentebb b’ebyalo kyongezebweyo ennaku 180, okusobozesa government kufuna obudde obumala okukunganya ssente ezineyambisibwa mu kutegeeka okulonda obukiiko obuddako.
Minister webyamawulire n`okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi, abadde ku Media Centre mu Kamapala, agambye nti nga baminister bakoze ogwabwe ogw`okunaanuula ekisanja kya ba Ssentebe
Minister wa government ez’ebitundu Raphael Magezi yasigalidde okutwala ekyasaliddwawo mu parliament bayise etteeka erinalungamya enteekateeka eno.
Chris Baryomunsi agambye nti mu kiseera kino government terina ssente zakutegeka kulonda kwa bassentebe bebyalo olw’ebbula ly’ensimbi,nti ng’eziriwo ntono ddala tezimala kukwasaganya buli nsonga eri mu ggwanga.
Agambye nti kati essira liteekeddwa kukusoosowaza enkola ey`okuggya abantu mu bwavu eya Parish Development Model PDM.
Bisakiddwa: Musisi John