Ekisanja kya ba Ssentebe be byalo emitwalo 71,216 kiweddeko, wabula government gakyajeesibye, egamba terina nsimbi zitegeka kulonda ba ssentebe abaggya.
Guno ssi gwe mulundi ogusose embeera eno okubaawo.
Okulonda kwa LC.1 ne LC.2 okwasembayo mu 2018 kwaliwo oluvamyuma lw’emyaka 17.
Akakiiko ke byokunda kagamba nti ketaaga obuwumbi bwa dhs 60 okutegeka okulonda naye nga tezinabawebwa.
Embeera yeemu yeeri ne ku bukiiko bw’abakulembeze bw’abakyala abaliko, ekisanja kyagwako mu August 2022, wabula government yategeeza nti ekyanoonya nsimbi.
Omulamuzi Simon Byabakama era nga yakulira akakiiko k’abyokulonda mu ggwanga, agambye nti enteekateeka zonna baamala dda okuzibaga balinze nsimbi.
Ekisanja kyaba ssentebe bebyalo okuli LC1 ne LC2 olwaleero ngennaku z’omwezi 10 omwezi guno ogwa July 2023 lwekigwaako mu butongole.
Okusinziira ku minister wa government ez’ebitundu Rafeal Magyezi, waliwo enteekateeka ezikolebwa okwongezaayo ekisanja ky’obukiiko buno, era government yakufulumya okulambika okwenjawulo ku nteekaterka eno.
Munnamateeka era omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi, alabudde nti enteekateeka yonna government gyagezaako okukola okwongezaayo ekisanja kyaba ssentebe nga tewabaddewo kulonda, yabumenyi bw’amateeka era government yandikubwa mu mbuga z’amateeka.
Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph