Omupiira wakati wa Vipers eya Uganda ng’ettunka ne Simba eya Tanzania mu mpaka za CAF Champions League, gwe gugenda okusooka okuzannyirwa ku bitaala ebyateereddwa mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende.
Omupiira guno gwakutandika ku ssaawa emu eyakawungeezi era gwakubeerawo ku lw’omukaaga luno nga 25 February,2023.
Ttiimu zombi ziri mu kibinja C era Vipers yakafuna akabonero 1 mu mipiira 2, ate nga Simba tenafunayo kabonero konna.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe