Abavubuka babiri babuutikiddwa ekirombe ky’amayinja ku kyalo Magwa Cell ekisangibwa mu muluka gwe Buddo mu town council ye Kyengera.
Enjega eno egudde mu kirombe kya Bison, era abagenzi kuliko Dora Atwine ow’emyaka 28 ne Aringatum Francis ow’emyaka 27.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwaano Patrick Onyango agambye nti police n’abatuuze babaggyeyo basimye ettaka nebabatuukako, wabula basanze.mirqmbo.
Alabudde abasima amayinja okwegendereza obudde bw’enkuba ennyingi etonnya ensangi zino.#