
Ssebo/Nnyabo,
Nkulamusizza nnyo mu Mukama waffe Yesu Kristo.
Waliwo ensobi gye ndowooza nti ng’enderere okuwabya abantu nti ekifo *ky’Abakristaayo* awattirwa Abajulizi kiyitibwa *Nakiyanja!*
Ekituufu kiri nti:
1. *NAKIYANJA:* Kano ke kagga _(stream)_ akawula Essaza lya Kyaddondo ku ly’e Kyaggwe _(natural boundary),_ akali oba akasangibwa wammangako w’ekifo _(Ettambiro/Ekiggwa)_ *ky’Abakristaayo* Abajulizi _(Anglicans & Roman Catholics)_ we battirwa nga bookebwa mu kikoomi ky’omuliro!
2. Ebitundu byonna ebiriraanye emigga oba ennyanja tebiyitibwa mmannya ga migga egyo oba nnyanja ezo; okugeza:
• *Jinja, Njeru,* oba *Bujagaali* tebiyitibwa *Kiyira* oba *Nile* kubanga biriraanye omugga ogwo!
• *Entebbe* oba *Ggaba* tebiyitibwa *Nalubaale* oba *Victoria,* kubanga biriraanye ennyanja eyo!
3. *NAMUGONGO:* Erinnya lino liva ku ngeri y’obukambwe n’okutulugunyizibwa Abajulizi gye baayisibwamu okutuuka awali ettambiro lino; anti baabatuusaawo nga baabawalulira oba baabakuluulira ku *migongo* gyabwe nga amaanyi agatambula g’abaweeddemu dda.
Abantu abaabalaba oluvanyumako nga bali mu mbeera eno, be baabuuza bannabwe abaaliwo nga Abajulizi baakatuusibwa mu kifo kino nti,
*”Bano abatakyafaananika batuuse batya wano?”*
Ne baabaddamu nti,
“Batuuse *na mugongo,* nga baabawalula!”
Ekiseera kinene bwe ky’ayitawo, ekifo kwe ku kiyita *Namugongo!*
4. *KYALIWAJJALA/BULOOLI:*
Ekifo ky’Abakristu _(Roman Catholics)_ awali Basilica we wattirwa *Omujulizi Kalooli _(Charles)_ Lwanga.*
Oluvanyuma lw’okutambula ebbanga eddene okuva e Munyonyo, ate n’okutulugunyizibwa, Omujulizi ono y’asaba Abambowa _(Abasirikale)_ bamuttire awo; n’abagamba nti,
*”Nze nkooye munzitire wano; anti ne bwe munaantuusa mu ttambiro ndi wakufa sijja kwegaana Kristo!”*
Awo omu ku Bambowa kwe kumusogga effumu n’amutta!
*NB:*
Kalooli Lwanga ye teyayokebwa muliro!
N’olwekyo, ekyaalo Omujulizi ono kwe yattirwa tekiyitibwa *Namugongo,* wabula kiyitibwa *Kyaliwajjala* oba *Bulooli* okuva mu linnya lye erya *Kalooli.*
5. *EBIFO BYOMBI:*
Olw’obumu _(unity in diversity)_ mu Kristo obwayolesebwa Abajulizi baffe *Abakristaayo* _(Anglicans)_ , *n’Abakristu* _(Roman Catholics)_ nga battirwa wamu ku Kiggwa *ky’Abakristaayo e Namugongo* , ebifo byombi kaakano biyitibwa erinnya lino *NAMUGONGO.*
*OKUSABA:*
Ebigambo bino bigabaneko n’abalala olw’okugolola/okutereeza ensobi eno.
*The Rt. Rev. Henry Katumba Tamale,*
BISHOP OF WEST BUGANDA DIOCESE