Abatuuze ku kyalo Magguzi mu ggombolola ye Buwunga mu Disitulikiti ye Masaka batambulira mukutya olw’omusajja atamanyikiddwa n’akigendererwa kye alabibwako mu kibira ekibaliranye ng’akaalakala n’ekijambiya.
Abamu kubayizi bamasomero abayita mukkubo eriri mu kibira kino bategezezza nti omusajja ono bakamusanga emirundi egiwerako nga yekapise mukikabuuti ng’akutte ejambiya, n’ekikutiya nagezako okubagoba n’ebadduka.
Bbo bazadde babaana bano nga bakulembeddwamu Muky. Mary Mugisha bawanjagidde bekikwatako naddala Police okusitukiramu okuwenja omusajja ono akwatibwe nga tanaba kuwamba n’akusaddaka baana babwe.
Ssentebe we ggombolola ye Buwunga, Kavuma John Ssekasiko agambye nti kituufu ekibira kino kisakaatidde nasaba abazadde okufaayo ennyo kubaana babwe nga tebamala gabatuumatuma kuyita mukibira bokka, era naye asabye bannyini kibira okukisaawe kikendeeze ku nzigotta ekirimu
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito