Abakulembeze mu district ye Gomba basazeewo okuwandiikira abakulembeze ba district ye Butambala, nga beemulugunya eri district ye Butambala okukakkana ku kibira ekisangibwa mu district ye Gomba nekisaanyawo.
Ekibira kino kya government kiri Kaswera kigatta district ye Gomba ne Butambala mu ggombolola ye Bulo mu kitundu ekye Kyerima.
Kitegeezeddwa nti abe Butambala baasanyizaawo oludda lwekibira kye Kaswera, era tebakomye awo kati batandise n’omutema emiti gy’ekibira kino egiri ku ludda olwe Gomba nga bookya amanda, nokusala embaawo.
Bino byanjuddwa mu kukukuza olunaku lw’ebibira mu district ye Gomba olwaategekeddwa abekitongole ekigatta abalimi be Gomba ki Gomba district farmers association.
,Olunaku lwakuziddwa ku ssomero lya Kyetume Catholic primary school mu muluka gwe Golola mu ggombolola ye Mpenja.
Ssentebe w’eggombolola ye Mpenja Gomba Ssegirinnya John Bosco agambye nti eryo jjoogo lyennyini Abe Butambala lwebatuusizza ku district ye Gomba.
Agambye nti balina okukoma ku bantu abo abasanyaawo ekibira kye Kaswera.
Omukwanaganya w’emirimu mu kitongole Kya GODFA Rhoda Kulabako agambye nti bbo ngekitongole ekirafubanye okuzaawo ebibira, baggwaamu amaanyi bwebalaba ng’abeeyita abanene era abatakwatibwako nga bagenda e Gomba nebasaawa ebibira nga tewali abakomako.
Ssentebe wekitongole ki GODFA Haji Badiru Kayongo nomumyukawe Nakiganda Sylivia bagambye nti ekitongole kyabwe kyakwongera amaanyi mukusimba ebibira nga kiyita mukutendeka abatuuze okumerusa emiti ginansangwa wamu n’okugirabirira.
Wiiki eno yasibwawo okwetoola eggwanga lyonna okwefuumiitiriza ku bulungi bw’okuba n’amazzi amayonjo, nga tukuuma ensulo zaago n’obutonde bwensi naddala ebibira n’enjazi.