Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda The most Rev. Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu Mboowa, alangiridde enteekateeka y’ekkanisa ya Uganda, enagobererwa okuyambako okuteekateeka omwana omulenzi, naye asobole okukula nga wabuvunanyizibwa n’obutasuulirirwa olw’essira eriteereddwa ku mwana omuwala.
Mu nteekateeka eno mulimu okubajjukiza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abasajja, okulwanyisa Okutulugunya abawala, okubasomesa okubaggyamu ebboggo, okubasomesa obukulembeze, okubasomesa ebyenkulakulana n’okulwanirira eddembe lyabwe ng’abalenzi ssinga wabaawo okusoowagana sso ssi kubasalira musango saako n’okubabudabuda.
Dr. Samuel Stephen Kaziimba, abadde aggalawo olusirika lw’abaana abalenzi olumaze annaku 3 ku ssomero lya Mengo SS olwatuumiddwa Boys to Men, n’agamba nti emyaka mingi egiyiseewo ng’essira liteereddwa kukusitula embeera z’ omwana omuwala, abalenzi nebalekebwa ebbali neberabira obuvunaanyizibwa bwabwe.
Agambye nti omwana omulenzi n’omuwala bonna balina okuteekebwateekebwa kyenkanyi,okuzimba obulungi ekkanisa, amaka n’obukulembeze obwenkya nga binywevu ggulugulu.
Ssbalabirizi Kazimba agambye nti ekkanisa okutandika n’omwaka ogujja y’akutandikawo entekateeka okulaba nga tebasuulirirwa, neyennyamira olw’olulirimi olukozesebwa ku baana abalenzi naddala ababa bagudde mu nsobi nti lubamalamu amaanyi n’esuubi.
Eng. Ronald Kibuuka akuliddemu enteekateeka ya Boys to Men, awanjagidde abazadde okuyambako abaana baabwe okukula nga babuvunanyizibwa, ebiseera byabwe eby’omumaaso bisobole okubeera ebitangaavu nga temuli butabanguko.