Abatuuze abawangalira e Minziiro mu gombolola ye Kyebe mu district ye Kyotera bali mu ddukaduka, eggana ly’enjovu lizinze ekitundu kyabwe.
Enjovu zino enkambwe zonoonye buli kimu naddala emmere n’emiti gyebibala zireka zigisigudde.
Sentebe we gombolola ye Kyebe Kizza Francis agambye nti enjovu zino zisinze kukosa kyalo Kigazi mu muluka gwe Minziiro, era nti ziwaguzza kuva mu kibira kye Malamagambo.
Ssentebe Kizza alaajjanidde ekitongole kya Uganda Wild Life Authority okusitukiramu kibataase.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi