• Latest
  • Trending
  • All

Eddwaliro Muteesa II Busimbi ligguddwawo Nnaalinnya Kagere – ng’ekirabo ky’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi ag’e 70

April 8, 2025
Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

May 25, 2026
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

May 25, 2026
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

May 25, 2026
Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

May 24, 2026
Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

May 24, 2026
Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

May 24, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

May 23, 2026
Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

May 23, 2026
Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

May 23, 2026
Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

May 22, 2026
Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

May 22, 2026
Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

May 21, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eddwaliro Muteesa II Busimbi ligguddwawo Nnaalinnya Kagere – ng’ekirabo ky’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi ag’e 70

by Namubiru Juliet
April 8, 2025
in BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
122
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bannassingo beeziribanze nga beeyanza Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II olwókusiima nábagonnomolako ekirabo ssemalabo ekyéddwaaliro, ngékirabo kyáwadde Obuganda ekyámazaalibwage ag’omulundi ogwe 70.

Eddwaliro lino lyabbuddwa mu Ssekabaka Muteesa II,  liyitibwa Muteesa II Health Centre IV, lizimbiddwa mu Division eyé Busimbi mu  Mityana municipality, nga lizimbiddwa mu bbanga lya myaka 2.

Eddwaliro lino ligguddwawo Nnaalinnya Sarah Kagere, nga 08 April, 2025 ng’ekimu ku bijaguzo by’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwe 70.

Mu bubaka bw’eMpologoma obusomeddwa Nnaalinnya, Nnyinimu akubirizza bannassingo okwettanira okutumbula eby’obulamu nga beyunira abasawo abakugu, era bewale abantu abagezaako okubawubisa okuva ku nsonga z’Obwakabaka.

Sseggwanga Musota asiimye abantu bonna abakoze kyonna ekisoboka okulaba ng’eddwaliro lino liziimbibwa.

Ku mukolo gwe gumu Nnaalinnya kwatongolezza enteekateeka y’okugema abaana omusujja gw’ensiri mu Buganda.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka butadde amaanyi mu kusitula embeera z’abantu mu bintu ebyenjawulo, ng’eby’obulamu biri ku mwanjo ddala. Agambye nti mu bukulembezebwa Kabaka Muteesa II nebweyabeerera president, n’okutuuka mu myaka gya 1970 nga gitandika,  Uganda yeyali esiinza eby’obujanjabi ebirungi ku ssemazinga Africa, ng’oggyeko amawanga agaali gakyalimu abazungu, n’olwekyo embeera eyo Obwakabaka mwebuziimbye.

Omukolo gutandise na kusaba okukulembeddwamu Omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Joseph Anthony Zziwa ne bannaddiini abalala.

Emikolo gino gyatandise ggulo ne Bulungibwansi owómuggundu eyakulembeddwamu minisita wÓbutonde bwénsi, Bulungibwansi, Amazzi nékikula kyábantu Owek. Hajat Mariam Mayanja Nkalubo, okwo gattaako olusiisira lwébyobulamu mwe bajjanjabidde abantu bÓmutanda endwadde zámaaso.

Minister w’ebyobulamu mu bwakabaka Owekitibwa Cotilda Nakate Kikomeko agambye nti eddwaliro lino ligenda kuddukanyizibwa eddwaliro lye Mengo.

 

Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu yenna ngávulubanye essanyu, akulembeddemu Bannassingo bonna neyeeyanza Omuteregga okubawa ekirabo kino amakula.

Amyuka omubaka wa gavumenti owa district yé Mityana Prossy Muwanguzi naye yeyanzizza Maasomoogi olwókwagala ennyo abantu be, era abuuliridde abasawo abagenda okujjanjaba abalwadde mu ddwaaliro eryo, okukwata obulungi abantu bÓmutanda.

 

Ssentebe wa LC 3 owa Busimbi Division nga kyékitundu omuzimbiddwa eddwaaliro lino Omutaka Malagala Daudi naye avulubanye essanyu neyeeyanza Ssekkesa, agambye nti eddwaaliro lino balirinamu essuubi ery’okutuusa obujanjabi obusaanidde ku bannassingo.

 

Ebikujjuko ebyókukuza amazaalibwa ga Nnamunswa bikyagenda mu maaso, era nga  11 April,  wategekeddwaawo okusabira Bbaffe mu mizikiti gyonna mu Buganda.

Ku lunaku lwe lumu Kalemakansinjo yasiima okukwasa abaami bámasaza Tulakita ezirima, ngómukolo gwakubumbujjira ku mbuga ya Buganda enkulu Bulange e Mengo.

 

Ku Saturday nga 12 wajja kubaawo okusabira Magulunnyondo mu kkanisa zÁbadiventi wonna mu Buganda.

Ku sunday  nga 13 yéntikko yémikolo egyámazaalibwa, era wategekeddwaawo okusaba mu Eklezia ne kkanisa zonna mu Buganda, ngókusaba okukulu kwakubeeera mu Eklezia lutikko eyé Lubaga, essaawa 9 ezólweggulo.

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa
  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo
  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo
  • Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966
  • Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist