Abakulira eddwaliro ekkulu erijanjaba n’okubudaabuda abalwadde b’emitwe erya Butabika balajaanye, olw’omujjuzo oguli mu ddwaliro lino.
Dr Byamah Mutumba akolanga ssenkulu w’eddwaliro ly’e Butabika, abadde mu parliament ku mukolo ogutegekeddwa parliament okwebuulirira n’okwefumiitiriza ku bulwadde bw’emitwe mu ggwanga, naagamba nti eddwaliro lye Butabika lyazimbibwa okubaamu abalwadde 400, wabula mukiseera kino bali 1200.
Agambye nti zzo ensimbi eziddukanya eddwaliro lino tezeeyongerako, so ng’omuwendo gw’abalwadde b’emitwe gweyongera kulinnya.
Dr Mutumba agambye nti eddwaliro lino litubidde nekizibu kyekikomera ekikuuma abalwadde obutatoloka ekyagwa ,era abalwadde bangi babadde batoloka , kwekusaba parliament ebeeko kyeyamba eddwaliro lino lyongerwe ensimbi.
Dr.Ashfa Lukwata Commissioner wendwadde zemitwe nobwongo mu ministry yebyobulamu agambye nti ebibalo byebalina ebize biva mu kunoonyereza, biraga nti omwonge gukoze ky’amaanyi nnyo okutabula abantu emitwe.
Commissoner wa parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba asinzidde ku mukolo guno, naagamba nti abantu bangi ebbago ly’etteeka erikwata ku mwenge balitaputa bubi,balowooza nti ligenda kubagoba ku mwenge ,nagamba nti SSI bwekiri wabula ligendereddemu kulungamya abo abakozesa obubi omwenge negubaviiramu ebizibu.#