Akakiiko akuvanayizibwa ku kulondoola eby’obulamu okuva mumaka g’obwa president aka Health monitoring unit,kasambazze ebigambibwa nti waliwo omuwala eyazaalira mu ddwaliro Lya mubende Regional referral hospital nti eyagibwamu ensigo ye nga teyeyagalidde.
Peragiya Mukizimaana okuva mu Gombolola ye Kitenga mu district ye Mubende yagenda mu ddwaliro erimu okuzaala omwana n’alemera mu nnabaana, naddusibwa mu ddwaliro Lya mubende Regional referral hospital gyeyalongosebwa n’agibwamu.
Bazadde b’omwana ono owemyaka 20 okwali kitawe Sebastian Lwigyemera bagamba nti oluvannyuma lw’okuggibwamu omwana, waayitawo ekiseera muwala wabwe natandika okulumizibwa ennyo.
Baamutwala mu ka TV (scan) gyebaazuulira nti yalina ensigo emu.
Wabula akulira akakiiko ka health monitoring unit Dr.wallen Namala bwabadde ayogerako n’abamawulire ku media center mu Kampla,agambye nti bekenenyeza ensonga z’omuwala ono nebakizuula nti omuwala yazaalibwa n’ensigo emu.
Agambye nti basisinkanye be kikwatako okwali abakulira eby’obulamu mu district ye Mubende ,eddwaliro Peragiya gyeyazaalira , n’abasawo abakugu okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekkanya ensonga.
Dr Namala ayongeddeko nti bakukwatagana n’aboluganda lw’omuwala okubanyonyola nti omuntu asobola okuzaalibwa n’ensigo emu nga bweguli ku muwala wabwe.
Agambye nti eky’okukyusa ebitundu by’omubiri gw’omuntu sikyangu era tekikolebwa buli musawo, nga ne mu Uganda yonna mulimu abasawo babiri bokka abasobola okusimbuliza ebitundu byomubiri okuli n’ensii
go.
Dr. Maleneko Godfrey okuva munddwaliro lya Mubende Regional referral hospital agambye Peragiya yagenda okujja mu ddwaliro ng’amaze okulemererwa okuzaala, nti era nebakola ekisoboka okutaasa obulamu bwe.
Asabye abakyala okwetanira okugenda mu malwaliro bafune obujanjabi obwetaagisa.
Ate ye Dr Ataro Stephen Ayella okuva mu kakiiko ka health monitoring unit, agambye nti waliwo abantu abazaalibwa nga balina ensigo emu.
Agambye nti kirabikira nnyo mu baana abalenzi.
Dr.Ataro annyonyodde nti ku buli bantu 10,000 kubearako 1 nga yazaalibwa n’ensigo emu , era kino ono omuwala siyasoose.
Eky’abantu okwekengera okuggibwamu ensigo nga bagenze mu malwaliro kikyase nnyo ensangi zino.
Kivudde ku biwulirwa nti abavubuka abagenda okukuba ebyeyo naddala mu mawanga ga Buwalabu nti abamu bakama babwe bekobaana n’amalwaliro, abasawo nebabaggyamu ensigo, nebaziguza abagagga abalina ezaalwala.