Omuserikale mu kitongole kya police ekirwanyisa obutujju Counter terrorism Egwang David owemyaka 40, yasse mupolice munne era abadde mukyala we Atino Jennifer ng’abadde akolera mu kitongole ekikuuma abakungu.
Kizuuse nti abafumbo Egwang David ne mukyalawe Atino Jennifer babadde nÓbutakkaanya okumala ebbanga ddene, nga omugenzi alumiriza bba obutalabirira baana nga bwekyetaagisa.
Ensonda za police zitegeezezza nti Ekwang yategeezezza abakulu mu police, nti afuna ssente ntono nnyo olw’amabanja geyali yafuna , ate nga mukyalawe kennyini yeeyali yamukaka okwewola ensimbi.
Kitegeerekese nti omutemu Egwang olwamaze okulabikako eri abakulu ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu, yagaanye ebyabadde bisaliddwawo ku nkuza yábaana, olwo omugenzi naasaba ensonga zeyongereyo mu kkooti yÁmaka.
Abaagalana bano kigambibwa nti olwavudde ku kitebe kya police okudda mu maka gabwe mu nkambi ya police esangibwa ku Jinja Road , omwaami Ekwang kwekukuba mukyalawe amasasi nga yeyambisa Pistol naamutta.
Ebisosonkole byámasasi 3 bisangiddwa mu kifo omugenzi weyatemuliddwa.
Omutemu Ekwang yakwatiddwa akuumibwa mu kaduukulu ka police ya Jinja Road.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango alabudde abakwata mmundu okubeera abegendereza nga balina eby’okulwanyisa ebyo.
Bisakiddwa: Kato Denis