Eby’okuyimbula Ababaka Muhammed Sseggirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewannayana owa Makindye West bikyazeemu omukoosi, omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze agobye abantu ababadde bazze okubeeyimirira.
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze agaanye Mmeeya w’ekibuga Masaka Florence Nnamayanja ne mmeeya w’e Makindye Ali Nganda Mulyannyama okweyimirira ababaka bano olwokuba nti tebabadde na bbaluwa za L.C 1 gyebava.
Ebyo nga biri bityo, ssabawaabi wa government aggyeyo mu kooti obujulizi bw’abantu 3, saako n’rbbaluwa eziwakanya okuteebwa kw’ababaka ku kakalu nazo zijjiddwayo (affidavits).
Kati kisigalidde eri mulamuzi Lawrence Tweyanze okusalawo ekiddako.
Bannamateeka b’ababaka bano bangi webali mu kooti okuli n’akulira oludda oluvuganya mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba.
Ababaka ba parliament ku ludda oluvuganya nabo bazze mu bungi#