Government ya Uganda ekungaanyizza omusolo gwa trillion 13.301 eza shs mu bbanga ery’emyezi omukaaga egiyise okuva mu July okutuuka December,2023.
Ensimbi zino zeevedde okusinziira ku musolo gwa trillion 14.169 ogwali gusuubirwa okukungaanyizibwa.
Obuwumbi bwa shs 867.91 tebwasobose kukungaanyiIbwa.
Omuteesiteesi omukulu owa ministry y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi mu ngeri yeemu agambye nti ebyenfuna by’eggwanga bitandise okudda engulu n’ebitundu 5.2% bwogerageeranya bweyali nga covid 19 natagwawo mu mwaka gw’ebyensimbi 2019/2020.#