Ebivudde mu bigezo bya MOCK ebyakolebwa abasomesa ba P.7 abawera 52 mu district ye Nakaseke biraze nti abasomesa abamu tebawezezza bubonero obw’ebitundu 50%.
Ebigezo bino byatuulibwa nga 13 March,2024, oluvannyuma lw’ebyava mu bigezo bya PLE ebya 2023 okudda ng’abayizi mu masomero ga government 15 mu Nakaseke abasiinga obungi baagwa n’enkoona n’enywa.
Ssentebe we Nakaseke Ignatious Koomu yawaliriza abasomesa okutuula ebigezo ebigezo bya MOCK ebyakolebwa abayizi babwe, okuzuula oba ng’omutindo gw’abasomesa guli wansi nga nebyebasomesa abayizi tebabimanyi oba nga waliwo ensonga endala.
Ebyavudde mu kugezesa abasomesa kulaze nti asinze afunye obubonero 92% ate asembye nafuna obubonero 27%.
Essomo ery’okubala abasomesa bano lyebasinze okukola obubi, nga 7 ku 9 abatuula tebawezezza bubonero 50.
Wabula abasomesa bano bewozezzaako nti abayizi okukola obubi bakonera mu bibiina ebya wansi, bagenda okutuuka waggulu mu P.7 nga tebyakyasobola kuvaamu mulamwa.
Akakiiko k’ebyenjigiriza e Nakaseke kalagidde amasomero ga primary gonna aga government okutegekanga ebibiluuzo ebitandika buli lusoma, ng’emu ku ntegeka y’okusitula omutindo.
Bisakiddwa: Taaka Conslata