Alipoota ya ministry y’eby’obulamu eraze nti endwadde eziva ku bukyafu kikyali kizibu kyamaanyi, olwa banna Uganda obukadde 13.5 okuba nti tebasobola kufuna mazzi mayonjo, ate ebyalo emitwalo 21,000 tebirina mazzi, kwossa abantu okwesuulirayo ogwa Naggamba okunaaba engalo n’obutakozesa Ssabbuuni.
Omukugu mu mbeera z’obutonde n’ebyobulamu Namyalo Ketty agambye nti banna Uganda ebitundu 36% tebanaaba ngalo zabwe, ekiviiriddeko endwadde z’embiro okweyongera ebitundu 30% n’endwadde endala ezibagaana okussa obulungi ezikola ebitundu ziri ebitundu 20%.
Namyalo agambye nti beetaaga obuwumbi bwa shs 5.6 okuyita mu Project ya WASH okwongera okubangula abantu ku miganyulo gy’okunaana mu ngalo.
Bosco Okia Principal Health Officer okuva mu ministry y’eby’obulamu agambye nti endwadde ezisinga ebitundu 50% zisobola okwewalika singa abantu bajjumbira okunaaba mu ngalo.
Agambye nti kyokka kyewunyisa okulaba nga banna Uganda okuva COVID Ne Ebora lwebyakendeera eby’okunaaba mu ngalo nabo babivaako dda.
Bisakiddwa: Kaleebu Henry