Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa ayagala ekitongole ekirungamya kampuni za yinsuwa mu ggwanga ki Insurance Regulatory Authority kiteekewo enkola eneewaliriza abazimba ebizimbe mu bibuga byonna mu ggwanga, okubiteeka mu Nsuwa ku buwaze, okweerinda ebibambulira ebigwaawo nebiviirako abantu okukosebwa n’Okufa.
Wazze wagwawo enjega ezenjawulo naddala mu Kampala n’emiriraano,ebizimbe ebiwerako mwebigwiiridde nebitta abantu n’okuleka abalala nga balemadde.
Tayebwa abadde mu mukolo ekitongole ki Insurance Regulatory Authority kwekiweeredde engule ezenjawulo eri abayiiya nabawanguzi mu mpeereza za yinsuwa mu mwaka 2023.
Omukolo gubadde ku Serena Hotel mu Kampala,Tayebwa agambye enkola ya yinsuwa ku bizimbe ebimeruka neebyo ebyazimbibwa edda agenda kugiwagira n’amaanyi ge gonna okutuusa ng’egguse.
Thomas Tayebwa asabye enkola ya yinsuwa eya motor third party eddemu yekeneenyezebwe ekimala, nti n’ensimbi ezisasulwa banyini bidduka zirinnyisibwe, kisobozese abagoba b’ebidduka wamu naabasaabaze ababa abakoseddwa mu bubenje okufuna okuliyirwa okwegasa.
Agamba nti obusente obutono obuli ku nkola ya third party tebuwa maanyi baba bafiiriziddwa kubufunamu, nebabulekera kampuni za yinsuwa nezigaggawala.
Minister omubeezi ow’Ebyensimbi n’okutekerateekera eggwanga Henry Musaasizi asabye kampuni za yinsuwa okukuuma obwesigwa era ziriyire bonna ababa bafunye obuzibu mu bwenkanya, kyokka naalabula ku bukumpanya obuli mu bannansi abapangirira obubenje obutabaayo nebaagala baliyirwe.
Ssenkulu w’Ekitongole ekirungamya kampuni za yinsuwa mu ggwanga ki Insurance Regulatory Authority Owek Haji Ibrahim Lubega Kaddunabbi, agambye nti wadde wabaddewo okusoomooza okwenjawulo mu nkola ya yinsuwa emyaka gyonna, okuliyirira abakoseddwa kyafuulibwa kya nkizo.
Kampuni ya yinsuwa eya Prudential Assurance Uganda limited y’enywedde akendo mu kampuni zonna, kampuni ya Minet Uganda yesinze okukola obwa Kayungirizi mu yinsuwa n’eddirirwa Werinde Insurance ey’Obwakabaka bwa Buganda, ng’eyita mu nkola yaayo eya Munno mu Kabi.
Mu bawanguzi abalala mubaddemu Stannic bank ne munnamawulire Nelson Mandela Muhoozi asinze okuwandiika ku mpeereza ya yinsuwa nabawanguzi abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis